Job 16

Yobu Ayanukula

1Yobu n’addamu nti,

2 a“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;
mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
3 bEbigambo byammwe bingi, tebiikome?
Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
4 cNange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe
Okunyeenyeza omuntu omutwe kyalaganga nga bw’onyoomye omuntu oyo. Kyali kivumo
gwange.
5Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;
ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.

6“Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,
bwe nsirika era busigalawo.
7 eMazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;
osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
8 fOnsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,
obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
9 gKatonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,
annumira emba;
omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
10 hAbantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;
bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11 iKatonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,
era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
12 jNnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
13 kabakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
14 lAnnumba, emirundi n’emirundi,
n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.

15 m“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,
ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
16Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 nnewaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
n’okusaba kwange nga kutukuvu.

18 o“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
19 pEra kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 qMikwano gyange bansekerera,
amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 rKu lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.

22 s“Emyaka mitono eginaayitawo
nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”
Copyright information for LugEEEE